Abagoberezi ba kristu okwetoloola Buganda n'ebitundu ebirala beyiye mu masinzizo okusabira Ssaabasajja Kabaka Sseggwanga Musota Ronald Muwenda Mutebi II, ng'emu ku nteekateeka y'okukuza amatikkira ge ag'emyaka 31. Mu masinzizo agenjawulo...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza abakulembeze ba Ssaabasajja ku mitendera egyenjawulo, abakoze ekisoboka okunnyikiza Federo ey’Ebikolwa , ng'eno yeemu ku nsonga ssemasonga ettaano Obwakabaka kwebutambulira. Mu myaka 31...
Ettendekero ly'Obwakabaka erya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education lijaguzza emyaka 25 bukyanga litandikibwawo mu 1999, nga lifulumya abavubuka abasobola okwetandikirawo emirimu. Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abaami b'amasaza, okukulemberamu abantu ba Kabaka mu lutalo lw'okulanyisa obwavu, nga bakola ebivaamu ensimbi n'okukubiriza abantu okujjumbira okukola n'amaanyi Katikkiro agamba nti kiswaaza abantu ba...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akomyewo ku butaka okuva e Namibia gy'abadde okumala ekiseera ng'awummuddeko, nga bwalondoolwa abasawobe ku nsonga z'obulamu bwe. Omutanda atuuse ku ssaawa zibadde musanvu n'eddakiika...
Katikkiro Charles Peter Mayiga ayongedde okuwabula abantu ba Kabaka okwewala ettamiiro eriva ku kunywa omwenge ogw’ekyeyonoonero kyagamba nti kivaako obutabanguko mu maka, emize ng’obwamalaaya, endwadde n’obubenje. Katikkiro abadde asasinkanye ssenkulu...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awabudde abavubuka okunyiriza emirimu gyabwe nga bagikola n’okwagala, ate mu bwerufu wamu n'obugumiikiriza, basobole okujifunamu ekiwera. Katikkiro abadde mu nsisinkano n’abamu ku bavubuka ba...