Abagoberezi ba kristu okwetoloola Buganda n’ebitundu ebirala beyiye mu masinzizo okusabira Ssaabasajja Kabaka Sseggwanga Musota Ronald Muwenda Mutebi II, ng’emu ku nteekateeka y’okukuza amatikkira ge ag’emyaka 31.
Mu masinzizo agenjawulo mu klezia , ekkanisa ne mu ekelesia eya Orthodix Church, bawaddeyo essaala eyenjawulo okwebaza Katonda olw’obulamu bwawadde Omutanda, era amusobozesezza okutuuka ku matikkira ge ag’emyaka 31 ng’alamula Obuganda, saako enkulaakulana ez’enjawulo ezituukiddwako mu myaka gino.
Mu ngeri yeemu mu masinzizo agamu wabaddewo okuyiimba Ekitiibwa kay Buganda kyonna mu bujjuvu.
Amatikkira ga Ssaabasajja ag’omulundi ogwa 31 gakuzibwa ku mulamwa ogugamba nti Obumu bwaffe, gemaanyi ga Nnamulondo.
Obubaka obuvudde embuga obusomeddwa eri abakkiriza, nga busomeddwa ba minister n’abaami ba Kabaka, bukkaatiriza ensonga y’okukuuma OBUMU, ng’emu ku nsonga ssemasonga ezinazza Buganda ku ntikko.
Mu lutikko e Lubaga ekitambiro kya mmisa kikulembeddwamu Kyansala wa Kampala Rev. Fr. Dr. Pius Male, ng’obubaka obwenjawulo buweereddwa Rev. Fr. Solomon Kavuba.
Fr.Kavuba eyeebazizza Kabaka olw’omukwano gwalaze abantu bonna era ayanirizza bangi mu Buganda nga bava mu bitundu ebyenjawulo eby’eggwanga nebajja nebakolera emirimu gyabwe mu Buganda.
Agambye nti enkulaakulana yonna eri mu Buganda yesigamiziddwa ku bwa sseruganda obuli mu bantu ba Buganda.
Okusaba kw’olunaku lw’Amatikkira nga 31 July,2024 kwakuyindira ku lutikko e Namirembe era ewali emikolo emikulu.
Nnyinimu Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II yatikkirwa nga 31 July,1993 e Naggalabi Buddo, era n’afuuka Kabaka wa Buganda owa 36.#