Katikkiro Charles Peter Mayiga ayongedde okuwabula abantu ba Kabaka okwewala ettamiiro eriva ku kunywa omwenge ogw’ekyeyonoonero kyagamba nti kivaako obutabanguko mu maka, emize ng’obwamalaaya, endwadde n’obubenje.
Katikkiro abadde asasinkanye ssenkulu wa kkampuni ensogozi y’omwenge eya Kakira Distillery Ltd, Patrick Pillay mu Bulange e Mmengo.
Azze okumwanjulira ebika by’omwenge byebakola n’okunyweza enkolagana ne Buganda.
Katikkiro agambye nti abantu ba Kabaka abafuna ssente mu mmwanyi ennaku zino, tebasaanye kumalira nsimbi mu kunywa mwenge.
Abawabudde nti kibagwanidde okusooka okulowooza ku bulamu bwabwe n’endabika y’amaka gaabwe kiggyeyo bulungi ekigendererwa kya Ssaabasajja eky’okubalagira okulima emmwanyi beggye mu bwavu.
Agambye nti abateekeddwa okunywa ku mwenge basaanye okunywa ogw’ekigero ate n’obuvunaanyizibwa.
Patrick Pillay okuva mu kampuni ya Madhivan era nga yetwala ne Kakira Distellery Ltd agambye nti baafuna ekirowoozo ky’okuyiisa omwenge ng’emu ku ngeri y’okutaasaamu obutonde bwensi, nga bakozesa ebyo ebiva mu bikajjo byebakolamu ssukaali.
Agambye nti balina n’omwenge gwebakola okuva mu mmwanyi kyagambye nti kigenda kwongera ku katale k’emmwanyi naddala ezirimwa wano mu Uganda.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K