Obwakabaka bwa Buganda butongozza Etterekero ly’Ebitabo ebijjuddemu ebyafaayo by’Obwakaba n’enzirukanya y’emirimu wamu n’ekifo ky’ebiyiiye ,okutumbula omutindo gw’Ebyobulambuzi mu Buganda.
Ebifo bino bitongozeddwa ku wofiisi y’Ekitongole ky’Ebyobulambuzi ki Buganda Heritage and Tourism Board ku Butikkiro e Mengo.
Omukolo gw’okutongoza ekifo kino, yeemu ku nteekateeka y’okujjukira nga bwegiweze emyaka 31 ng’eMpologoma Sseggwanga Ccuucu Musota Ronald Muwenda Mutebi II atudde ku Namulondo, alamula Obuganda.
Emikolo gy’okusabira Nnyinimu n’okukuza amatikkira ge gyakubaawo nga 31 July,2024 ku Lutikko e Namirembe.
Bwabadde atongoza ebifo bino, Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, asabye ekitongole ky’Ebyobulambuzi okukozesa Obuyiiya obw’ekika ekya waggulu mu kusikiriza abalambuzi, nategeeza nti Buganda yokka esobola okufuna obutitimbe n’Obutitimbe bw’ensimbi mu Bulambuzi singa wabaawo okweteekateeka okumala.
Katikkiro asabye ministry y’Obuwangwa Ennono ,Embiri n’Ebyokwerinda egyeyo nagoomubuto Ekkaddiyizo ly’Obwakabaka nalyo litandike, kyokka naasaba abaweereza mu Kitongole kino okufa ennyo ku ndabika yaakyo eweesa Buganda ekitiibwa.
Minister w’Ebyobuwangwa ,Ennono ,Embiri n’Ebyokwerinda Owek Dr Anthony Wamala, ategeezezza nti buno buwanguzi bwennyini obutuukiddwako, era asabye abaweereza mu kitongole kino beesibe bbiiri banyweere, batumbule Buganda nga bayita mu by’Obulambuzi.
Bisakiddwa: Kato Denis