
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwe yasiima abavubuka batandike okubangulwa mu mirimu gy’eby’emikono, baweebwe obukugu okusobola okukyusa embeera zaabwe nga baliko bye bakola.
Nnaalinya Sarah Kagere abadde omugenyi ow’enkizo ku mukolo guno atenderezza enkulaakulana etereddwawo mu bbanga ery’emyaka 25, era yeebazizza Katonda olw’ebijaguzo bino okutuukira mu kiseera ng’Obuganda bujjukira emyaka 31 nga Kabaka Mutebi II atudde ku Nnamulondo, era asabye Katonda ayongere okussuusa Maasomoogi addemu okukola emirimu gye obulungi.





Owek. Joseph Ssenkusu Balikuddembe alaze bye batuuseko mu myaka 25 egy’ettendekero omuli okuba nga bafulumizza abayizi abatikiddwa abali mu 12,000 nga babanguddwa ku ttendekero lino ate nga ba mugaso ddala.
Yeebazizza bonna abaddewo okulaba nga bino bituukibwako, asiimye nnyo obwesige bw’abayizi abayise mu ttendekero wamu n’abazadde, era asuubiza nti ate bingi ebikyakolebwa mu bbanga eriddako.
Omukolo guno gwetabiddwako abakulembeze bangi ddala okubadde Omulangira David Kintu Wasajja, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Mugumbule, ba minisita okuva mu gavumenti ya Kabaka, eyaliko Ssenkulu era Minisita kati Owek. Anthony Wamala, , Pulofeesa Kakumba Umar, Owek Israel Kazibwe Kitooke , Owek. Cotilda Nakate kikomeko, Oweek. Mariam Mayanja, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu, Minister w’abavubuka eyawummula, Abataka b’Obusolya, Abakulu b’ebitongole, Bannabyafuzi, abayizi abaasomerako mu ttendekero n’abakungu abalala