Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akomyewo ku butaka okuva e Namibia gy’abadde okumala ekiseera ng’awummuddeko, nga bwalondoolwa abasawobe ku nsonga z’obulamu bwe.
Omutanda atuuse ku ssaawa zibadde musanvu n’eddakiika 40 ez’ekiro ekikeesezza monday nga 22 July,2024.
Omutanda ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, Abaana b’Engoma okuli, Omulangira Crispin Jjunju Kiweewa, ne Nnaalinnya Victoria Nkinzi.
Katikkiro mu kwogerako eri ab’amawulire n’abantu ba Buganda abeebazizza okubeera abagumiikiriza ku lw’okusoosowaza obulamu bwa Kabaka n’asobola okujanjabwa mu mirembe, nebatamalira budde ku boogezi b’e bigambo ebitaliiko mutwe na Magulu.
Omulangira Chrispin Junju Kiweewa mu bubakabwe ne ku lw’Abennyumba ya Ssaabasajja, yeebazizza government ya Uganda, ne ye Namibia, olw’obuwagizi bweziwadde Maasomooji, abasawo ba Ssaabasajja abe Switzerland, Germany ne Namibia, saako abaweereza abalabiridde Empologoma ya Buganda yonna gy’ebadde ejjanjabirwa.
Omulangira Junju agambye nti Ssaabasajja yeyasiima awummulireko mu Namibia, nti kubanga embeera yaayo ewummuza ate erimu emikisa, kyokka naavumirira bonna ababadde emabega w’Okuvvoola Nnamulondo.#