Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awabudde abavubuka okunyiriza emirimu gyabwe nga bagikola n’okwagala, ate mu bwerufu wamu n’obugumiikiriza, basobole okujifunamu ekiwera.
Katikkiro abadde mu nsisinkano n’abamu ku bavubuka ba Buganda banneekolera gyange abakungaanidde luggya lwa Bulange e Mmengo n’abakuutira okubeera abagumiikiriza baleme kulowooleza mu bugagga obw’amangu.
Abakubirizza n’okutereka ensimbi bazongere mu mirimu gyabwe beekulaakulanye.
Abavubuka bano abavudde mu masaza ag’enjawulo boolesezza n’ebimu ku byebakola omuli eby’okutunga, ebibajje, eby’obulimi n’emirimu emirala egy’ekikugu mingi.
Ensisinkano eno yeemu ku nteekateeka eyawomwamu omutwe minister w’Abavubuka mu Buganda, okulaba ng’abavubuka bonna naddala abalina byebakola nga babyolesa abalala babalabireko.
Minister w’Abavubuka, Ebyemizannyo n’Ebitone Owek Ssaalongo Robert Sserwanga asabye abavubuka okwongera obuyiiya mu mirimu gyabwe basobole okutondawo emirimu abantu gyebeetaga era eginaabakulaakulanya.
Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda Ssejjengo Baker asabye abavubuka okwenyigira ne mu bulimi naddala mu kiseera kino nga Katikkiro abakubiriza okwettanira okusimba n’okulima emmwanyi mu nteekateeka ya Mmwanyi Terimba.
Ssejjengo era asabye abalina emitimbagano okujikozesa obulungi naddala ng’abalangirako ebyamaguzi byabwe.
Ssenkulu wa Buganda Royal Institute of Business and Technical Education e Kakeeka Mmengo Owek. Joseph Balikuddembe Ssenkusu asabye abavubuka abagenda ebweru w’eggwanga okubaako ekyenjawulo kyebagenda nakyo, nabo basobole okukiyigiriza abeeyo gyebabeera balaze, n’okufunamu ensimbi ezegasa.
Bisakiddwa: Naluyange Kellen.