Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abaami b’amasaza, okukulemberamu abantu ba Kabaka mu lutalo lw’okulanyisa obwavu, nga bakola ebivaamu ensimbi n’okukubiriza abantu okujjumbira okukola n’amaanyi
Katikkiro agamba nti kiswaaza abantu ba Buganda okudda mukusabiriza n’okulinda okuweebwa ensimbi okuva mu bannabyabufuzi, kyokka nga balina ettaka erimala okulima emmere n’okulunda nebafuna ensimbi.
Katikkiro Okwogera bino abadde aggulawo olusilika lw’Abaami ba Masaza nabamyuka baabwe, Abatetesitesi b’Amasaza ,n’abalezi baabwe.
Olusirika luyindira ku Pope Paul Memorial Hotel mu Ndeeba, lutegekeddwa okwekenneenya entambuza y’emirimu mu Masaza ne mu Bwakabaka bwonna.
Katikikiro alabudde abantu ba Buganda okukoma okulinda Okuweebwa wabula bakole, era asabye Abaami ba Kabaka obutekomomma, wabula bakunge abantu okwenyigira mu bivaamuu ensimbi.
Mungeeri eyenjawulo Ow’omumbuga akuutiidde ab’Amasaza obutekkirirannya n’okutitiira nga bakola emirimu gya Kabaka , wabula babeere baavumu okwanganga buli kisoomooza.
Minister wa gavumenti ez’ebitundu era avunaayizibwa kukulambula kw’Omutanda nabantu ba Kabaka ebweru, Owekitiibwa Joseph Kawuki , ategeezezza nti Abaami ba Masaza bankizo nnyo mu ntambuza y’emirimu mu Bwakabaka, nga kikulu nnyo buligyo okubasomesa n’okubajjukiza obuvunaanyizibwa obwabakwasibwa.
Ssentebe w’Abaami ba Masaza Pokiino Jude Muleke, kulwa banne yeyamye nti beetefuteefu okukola ekyetagisa okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweebwa Kabaka.
Olusirika lwatandise nga 22 July,2024 lukomekkerezebwa nga 24 July,2024.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius