Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu ministry ya government ez'ebitundu, bufulumizza ekitabo ekirambika ebikwata mu masaza ga Buganda gonna, kituumiddwa Buganda Eggumidde ekirooto kya Kabaka Kintu. Ekitabo kino kirimu ensenga...
Omukulu w'Ekika ky'Empologoma Omubuze Omutaka Namuguzi Ssebuganda Wilson Ndawula aterekeddwa mu kibira ku butaka bw'Ekika e Lwadda. Aterekeddwa mu mbugo 168. Ye Ssebuganda Namuguzi owa 34. Ssaabasajja Kabaka asiimye emirimu...
Ekika ky'Empologoma kifunye Omutaka omuggya ow'akasolya ye Namuguzi Lukanga Erukaana ne Lubuga we Suzan Nalwadda. Azze mu bigere by'Omutaka Ndawula Wilson omubuze, agenda okuterekebwa ku butaka bw'Ekika ky'Empologoma e Lwadda...
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye nate naawa abaami b’Amagombolola abaali bafikkidde pikipiki, okuddukanya obulungi emirimugye. Mu bubaka Nyini Nsi bwatisse Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga mu Bulange...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu butongole agguddewo omwoleso gwa Buganda Ggaggadde 2024. Asabye abantu mu Buganda ne Uganda, okwettanira okumanya n'Okuyiga ebintu ebipya, okugaziya okumanya kwabwe. Abawadde amagezi...