Ekitongole kya Buganda eky’eby’obulambuzi ki Buganda Heritage and Tourism Board kifulumizza engereka y’ebisale by’ensimbi ebigenda okusasulwa abalambuzi abagenda okulambula amasiro g’e Kasubi.
Amasiro ge Kasubi gali ku bifo eby’enkizo eby’ebyobulambuzi ebirambikibwa ekitongole ky’ensi yonna ekya UNESCO.
Amasiro gabadde gamaze emyaka 13 nga gaggalwawo, olw’omuliro ogwasaanyaawo ennyumba Muzibwazaalampanga mu 2010, era okuva olwo omulimu gw’okugazimba n’okugazzaawo teguyimiriraanga, mu nkola ey’okugoberera ennono n’obuwangwa bwa Buganda.
Muzibwazaalampanga mwe muterekeddwa abamu ku ba Ssekabaka ba Buganda.#