Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll asiimye natuma Omulangira Jjunju Crispin Kiweewa mu Ssaza New England Boston mu USA okutongoza ettabi lya Kabaka Foundation Boston Chapter awamu n’okutuuza Bboodi egenda okutambuza emirimu gy’ekitongole mu kitundu ekyo.
Omulangira Jjunju atuuse mu USA era ayaniriziddwa abantu abenjawulo abakulembeddwamu Omubaka wa Ssaabasajja mu Ssaza lino Owek. Henry Ndawula Matovu,Ssenkulu wa Kabaka Foundation wamu n’abakungu abalala bangi.
Omukolo gwakubeerawo ku Saturday nga 14 September,2024 ku Crown Plaza Hotel Woburn Boston USA.
Ssenkulu we kitongole kya Kabaka Foundation omukungu Edward Kaggwa Ndagala ategezezza nti Ssabasajja Kabaka ayagala abantu be okufuna Obuweereza okuva mu kitongole kye Butereevu era nga yasiima bateekewo amatabi egenjawulo mu nsi yonna.
Bisakiddwa: Nakato Denis