Katikkiro wa Buganda Charles Peter ng’ali wamu ne baminister ba Buganda bakyaliddeko Professor Gordon Wavamunno nebamwebaza okubeera musajja wa Kabaka ataseseetuuka ku nsonga zonna ezikwata ku Bwakabaka.
Bamukyalidde mu Makage agasaangibwa e Nakwero Gayaza mu Wakiso, nebalambula n’ennimiroze, amalundiro n’ekkolero ly’amazzi ga Wava Water.
Katikkiro amwebazizza olw’okubeera eky’okulabirako ekinene lubeerera eri abavubuka abaagaala okutandikawo emirimu ku bwabwe.
Katikkiro asabye abantu mu Buganda ne Uganda okwekkiririzaamu, naabasaba batwale ekyokuyiga kya Prof Wavamunno eyewaayo natandika okuyingiza mmotoka mu Uganda nga ayita mu kampuni ye eya Spear Motors limited, ne Kampuni endala nyingi.
Mukuuma Ddamula mungeri yeemu awadde abantu ba Buganda amagezi okugabana amagezi n’abalala, kino kimalewo enkulaakulana eyeekubidde oludda Olumu,wamu nÓkubeera abayiiya.
Prof Godon Wavamunno mu bubakabwe yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olwokumusiima mu bangi naamuwa Ejjinja eryomuwendo, era naasaba Abantu mu Buganda okukolerera Obumu.
Prof. Wavamunno asabye abazadde okwagazisa abaana emirimu gyebakola , okubasigamu Obwerufu nÓmukwano, olwo byebakola babiganyulwemu.
Bisakiddwa: Kato Denis