Abantu ba Beene mu Ssaza Kabula babugaanye essanyu Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II bw’asiimye n’abalambulako.
Beene asiimye nabuuza ku baana abato mu kitundu kino.
Nnyininsi Sseggwanga Musota bannakabula balabidde awo ng’atuuse mu kitundu kyabwe n’ayimirirako mu town ye Kabula, n’abawubirako nga bw’abuuza ne ku baana abato.
Abantu be Kabula beyaanzizza empologoma olwokubalambula nebategeeza nti okujjakwe e Kabula kubaleetedde bingi omuli n’enkuba ebadde erudde okutonnya.#