Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga neba Minister okuva mu Bwakabaka basitudde ku Kisaawe Entebbe okwolekera Bungereza gyebagenze okutongoza Ttabamiruka wa Buganda Bumu Europe Convention, asookedde ddala ku lukaalu lwa Bulaaya.
Katikkiro Charles Peter Mayiga wakutongoza Ttabamiruka wa Buganda Bumu Europe Convention nga 13 September,2024 ku Green Tower Community mu Kibuga London.
Bwabadde ayogerako ne bana mawulire nga tanasitula ku kisaawe Entebbe, Katiikkiro Charles Peter Mayiga ategezeezza nti olukungaana luno lugendereddwamu okukumaakuma n’okunyweza obumu mu bantu ba Kabaka abawangalira ebweru wa Buganda.
Mungeri yeemu Katikkiro agambye nti abavubaka abakozesa emitimbagano mu bukyamu nga basinizira mu mawanga g’ebweru kivudde kukuba nti abavubuka bano tebafuna kulungamizibwa kumala ku bintu byebogera
Mungeri eyenjawulo Owomumbuga ayozayozezza Team ye Ggwanga eyomupiira ogwebigere Cranes olw’obuwnaguzi bwe yatukaako mu mpaka zokusunsulamu mu kikopo kya Africa Cup Nations bwe yakubye Congo Brazzaville 2.0.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius