• Latest
  • Trending
  • All
Omukulu w’ekika kye Mpologoma omuggya Namuguzi owa 35 atuuziddwa

Omukulu w’ekika kye Mpologoma omuggya Namuguzi owa 35 atuuziddwa

August 31, 2024
Ebbago ly’etteeka lya Protection on Sovereignty bill 2026 erigenderera okukuuma obwetengereze bwa Uganda – abaweerezebwa ensimbi okuva ebweru w’eggwanga bakusooka kufuna lukusa okuva mu government

Ebbago ly’etteeka lya Protection on Sovereignty bill 2026 erigenderera okukuuma obwetengereze bwa Uganda – abaweerezebwa ensimbi okuva ebweru w’eggwanga bakusooka kufuna lukusa okuva mu government

April 16, 2026
NRM yewozezaako  by’okwambala ebyambalo bya UPDF nga sibannamagye – basooka kussa mikono ku kiwandiiko

NRM yewozezaako by’okwambala ebyambalo bya UPDF nga sibannamagye – basooka kussa mikono ku kiwandiiko

April 16, 2026
Katikkiro Mayiga atandise okulambula abantu ba Kabaka abali mu Ankole – asoose kulambula bayizi ba Nkobazambogo ku Mbarara University of Science and Technology

Katikkiro Mayiga atandise okulambula abantu ba Kabaka abali mu Ankole – asoose kulambula bayizi ba Nkobazambogo ku Mbarara University of Science and Technology

April 15, 2026
Olutuula lwa kooti olwokubiri okuwulira emisango gy’okutta abaana e Ggaba egivunaanibwa Okello Onyum luwedde mu ngeri yakusoberwa – babiri bawadde obujulizi ku byaliwo

Olutuula lwa kooti olwokubiri okuwulira emisango gy’okutta abaana e Ggaba egivunaanibwa Okello Onyum luwedde mu ngeri yakusoberwa – babiri bawadde obujulizi ku byaliwo

April 15, 2026

Government egumizza bannauganda nti ebbula ly’amafuta lyakaseera – ekizibu ekitadde ku kampuni z’amafuta zerumiriza okutunda amafuta ga Uganda e Kenya

April 15, 2026
Ebibiina by’abasuubuzi bitabukidde mu parliament – bawakanya egimu ku misolo emiggya egiteekeddwa mu mbalirira y’omwaka 2026/2027

Ebibiina by’abasuubuzi bitabukidde mu parliament – bawakanya egimu ku misolo emiggya egiteekeddwa mu mbalirira y’omwaka 2026/2027

April 15, 2026

St Mary’s Kitende be bannantameggwa b’empaka eza masomero ga Senior mu Wakiso district

April 14, 2026
Ebibiina by’abasuubuzi bitabukidde mu parliament – bawakanya egimu ku misolo emiggya egiteekeddwa mu mbalirira y’omwaka 2026/2027

President Museveni alabudde ababaka ba parliament abaggya abanenyigira mu nguzi wakubakwasa n’omukono ogw’ekyuma – abasuubizza buli omu obukadde bwa shs 100 okwekubako enfuufu

April 14, 2026
Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde e Kyazanga – lukululana ebasaabadde

Abantu 2 bafiiridde mu kabenje akagudde e Busega mu Kampala – Sinotruck ebasaabadde

April 14, 2026
Ebintu byaffe eby’obuwangwa tebirina kuyitibwa bya sitaani – bishop Silvester Kisitu mu kukuza amazaalibwa ga Kabaka age 71 ku eklesia e Namungoona

Ebintu byaffe eby’obuwangwa tebirina kuyitibwa bya sitaani – bishop Silvester Kisitu mu kukuza amazaalibwa ga Kabaka age 71 ku eklesia e Namungoona

April 14, 2026
Ebintu byaffe eby’obuwangwa tebirina kuyitibwa bya sitaani – bishop Silvester Kisitu mu kukuza amazaalibwa ga Kabaka age 71 ku eklesia e Namungoona

Okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’e 71 – gakulembeddwamu eklesia ya Orthodox e Namungoona

April 13, 2026
Yogaayoga nnyo Ayi Ssaabasajja Kabaka omuti ogubala ensimbi n’ebikomo – okutuuka ku mazaalibwa go ag’emyaka 71

Yogaayoga nnyo Ayi Ssaabasajja Kabaka omuti ogubala ensimbi n’ebikomo – okutuuka ku mazaalibwa go ag’emyaka 71

April 14, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Omukulu w’ekika kye Mpologoma omuggya Namuguzi owa 35 atuuziddwa

by Namubiru Juliet
August 31, 2024
in BUGANDA
0 0
0
Omukulu w’ekika kye Mpologoma omuggya Namuguzi owa 35 atuuziddwa
0
SHARES
795
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

 

Omutaka Ssebuganda Namuguzi, omukulu w’ekika kye Mpologoma abbulukuse oluvannyuma lw’okutereka omubuze.

Omutaka Lukanga Erukaana, asumikibbwa Jjajjaawe Owessiga Ssegamwenge, Anthony Muyigwa, era n’ayanjulwa Katikkiro w’ekika Omutaka Kireega, Patrick Kisekka Ddungu, okusikira entebe ya Bajjajjaabe nga ye Mutaka Ssebuganda Namuguzi owa 35.

Omukolo gw’okwanjula Namuguzi omuggya eri bazzukulu be ne Buganda gubadde ku butaka bw’ekika kye Mpologoma ku mutala Lwadda, Matugga, Kyaddondo.

Oluvannyuma lw’okutuuzibwa, Omutaka Erukaana Lukanga, yeebazizza nnyo bazzukulu be olw’okujja mu bungi okujulira okubbulukuka kwa Ssebuganda Namuguzi, era n’abasaba bulijjo bajjumbire enteekateeka z’ekika kyabwe.

Aweze okukola n’obusobozi bwe bwonna okuweereza ekika kye n’okuba omuwulize eri Nnamulondo.

Ku lwa Government ya Ssaabasajja Kabaka, Minister w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda, Owek. Anthony Wamala, ayozaayozezza Omutaka Erukaana Lukanga n’abawologoma bonna olw’okubbulukuka kwa Ssebuganda Namuguzi.

Amukubirizza okufuba okukunga n’okukumaakuma abazzukulu bazimbe ekika.

“Obukulembeze bw’ebika bulina okufuba okuteekawo enkulaakulana mu kika. Namuguzi omuggya okwasibbwa obuvunaanyizibwa bunene era olina okukunga abawologoma bakukwasizeeko mu kutambuza ekika”, Owek. Wamala.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka b’Obusolya, Omutaka Nnamwama, Augustine Kizito Mutumba, naye ayozaayozezza Omutaka Ssebuganda Namuguzi, Lukanga Erukaana ne bazzukulu be bonna olw’okufuna Jjajja omuggya.

“Ku lw’Olukiiko lw’Abataka b’Obusolya, ku lwa Buganda ne ku lw’obuyinza obumpeebwa, nnyaniriza Omutaka Ssebuganda Namuguzi, Lukanga Erukaana, era nkwagaliza obuweereza obulungi”, Nnamwama.

Nnamwama era akubirizza abazzukulu mu bika eby’enjawulo okukola ennyo okulaba nga bazza ebika byabwe engulu, okuva mu nvuba abafuzi b’amatwale gye baabisibira. Abasabye okuyambanga bajjajjaabwe mu kutambuza emirimu gy’ebika byabwe kubanga buvunaanyizibwa bwabwe n’okunywezanga obumu.

Bazzukulu ba Ssebuganda Namuguzi, abakulembeddwa Oweek. Alhajj Amb. Prof. Ssaalongo Badru Kateregga Ddungu, baanirizza Jjajjaabwe omuggya era ne bawera okumuwulira n’okutambula naye mu kuzimba ekika kyabwe.

Bennyamidde olw’abantu abeesomye okusaanyawo obutaka bwabwe era baweze nti si baakussa mukono okutuusa nga baggusizza olutabaalo lw’okununula obutaka bwabwe.

Omukolo gw’okutuuza Omutaka Ssebuganda Namuguzi, Lukanga Erukaana, gwetabiddwako Minister w’Olukiiko, Kabineeti n’Abagenyi, Oweek. Noah Kiyimba, Omutaka Kidimbo, Dr. Grace Kizito Bakyayita, Abakulembeze b’enzikiriza e’enjawulo, Bakatikkiro b’ebika abalembeddwa Katikkiro wa Kiggye, Waggala Lubanga, Abaami ba Ssaabasajja Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, Abaamasiga n’abakulembeze abalala mu kika kye Mpologoma, bazzukulu ba Ssebuganda Namuguzi n’abantu abalala.

Omutaka Ssebuganda Namuguzi, Lukanga Erukaana Lukanga, ye Namuguzi owa 35, asikidde kitaawe Namuguzi owa 34 omubuze, Ndawula Wilson.

Omutaka Lukanga Erukaana, muzzukulu wa Lukanga Yokana, ava mu Luggya lwa Ndawula Katula,  mu Lunyiriri lwa Byataba Maggwa, mu Mutuba gwa Kayondo e Kibaale Bulemeezi, mu Ssiga lya Ssegamwenge e Nampiima Kyaddondo.

Olunaku lw’eggulo, Omutaka yayanjuddwa ewa Katikkiro wa Buganda nga bw’alindirira okwanjulwa mu butongole ewa Ssaabasajja Kabaka.#

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ebbago ly’etteeka lya Protection on Sovereignty bill 2026 erigenderera okukuuma obwetengereze bwa Uganda – abaweerezebwa ensimbi okuva ebweru w’eggwanga bakusooka kufuna lukusa okuva mu government
  • NRM yewozezaako by’okwambala ebyambalo bya UPDF nga sibannamagye – basooka kussa mikono ku kiwandiiko
  • Katikkiro Mayiga atandise okulambula abantu ba Kabaka abali mu Ankole – asoose kulambula bayizi ba Nkobazambogo ku Mbarara University of Science and Technology
  • Olutuula lwa kooti olwokubiri okuwulira emisango gy’okutta abaana e Ggaba egivunaanibwa Okello Onyum luwedde mu ngeri yakusoberwa – babiri bawadde obujulizi ku byaliwo
  • Government egumizza bannauganda nti ebbula ly’amafuta lyakaseera – ekizibu ekitadde ku kampuni z’amafuta zerumiriza okutunda amafuta ga Uganda e Kenya

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist