Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu ministry ya government ez’ebitundu, bufulumizza ekitabo ekirambika ebikwata mu masaza ga Buganda gonna, kituumiddwa Buganda Eggumidde ekirooto kya Kabaka Kintu.
Ekitabo kino kirimu ensenga y’ebikwata ku masaza ga Buganda gonna 18, Eggombolola, Emiruka n’Ebyalo.
Ekitabo Buganda Eggumidde ekirooto kya Kabaka Kintu kinnyonyola n’ensibuko y’amannya g’ebitundu ag’Ennono.
Kitundibwa shs 50,000/= kisangibwa ku mbuga z’Amasaza ne ku Bulange e Mengo.#