Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akomekkerezza olugendo lwe olubaddemu okutongoza olukungaana lw’Abantu ba Kabaka mu Bulaaya ,olumanyiddwa nga Buganda Bumu European convention olwomwaaka guno 2024.
Bwabadde akomekkereza olugendo luno ne ba minister ba Ssaabasajja ,abaami b’Amasaza ,abamyuuka baabwe n’Abakulu b’ebitongole by’Obwakabaka, Katikkiro akyaaliddeko Omulangira we Bungereza Edward owe Edinburgh, ono nga ye muto wa Kabaka Charles III owa Bungereza.
Obugenyi buno bubadde mu maka g’Omulangira Edward agasangibwa mu Bagshot Part, Surrey, ku njegooyego z’ekibuga London.
Ebimu ku byogeddwaako mu bugenyi buno mubaddemu endagaano eyassibwako omukono wakati w’Obwakabaka bwa Buganda n’e kitongole ky’Omulangira ekiyitibwa Duke of Edinburgh International Award, ekiruubirira okuyamba abavubuka okwezuula.
Katikkiro ategeezezza Omulangira Edward, nti okuva mu 2002, Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II Omulembe gwe yaguwa bavubuka, ng’ayagala bakule nga bantu baabuvunaanyizibwa abasobola okukozesa emikisa egibeetoolodde okwezimba, ate n’okuzza Buganda ku Ntikko.
Ku bugenyi buno yawerekeddwako Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro Owek Waggwa Nsibirwa; Minisita wa Gavti ez’Ebitundu era akola ku nsonga z’abantu ba Kabaka abali ebweru wa Buganda, Owek Joseph Kawuki; n’Omubaka atwala abantu ba Kabaka mu Bungereza, Owek Geoffrey Kibuuka.
Omwami wa Ssaabasajja akulembera essaza lya Bungereza ne Ireland Owek Ssalongo Kibuuka Geoffrey, yebazizza Beene olw’Okusiima nayatula erinnyalye amuyambeko okukumaakuma Abantube mu Bungereza.
Kamalabyonna n’Ekibinjakye oluvannyuma babitaddemu Engatto badde ku Butaka e Buganda bakole emirimu gy’Embuga emirala.
Bikungaanyiziddwa: Kato Denis