Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atuuzizza Omwami wa Kabaka e Bungereza ne Ireland Owek. Godfrey Kibuuka n’Abamyuka be.
Omukolo gubadde mu kibuga London.
Katikkiro abakubirizza okuweereza n’obuvumu, nga bakulembeza ebikolwa ebirabwako sso ssi kwogera bwogezi.
“Omulembe guno gwa kuzzaawo ebyaffe ebinnyonnyolwa Ssemasonga za Buganda 5; era nga buli kyetukola kisiimbye kukukuuma n’okunyweza Namulondo”
Abaami ba Kabaka abatuuziddwa mu Bungereza n’abalalala bonna abakubirizza okunywerera ku bituufu ate bewale abagezaako okubaggya ku mulamwa.
Enteekateeka y’okutuuza abaami ba Kabaka mu Bungereza ne Ireland atambulidde wamunne Ttabamiruka wa Bulaaya asookedde ddala eyakamala ennaku 2 ng’abumbujjira ku Kervon Banqueting Suite mu kibuga Edmonton.
Mu Ttabamiruka ono, Owek. Nelson Mugenyi n’omw. Fred Ssemugera balambise abantu ba Kabaka ku bukulu bw’o kunyweza obuwangwa n’ennono nga bali ebweru wa Buganda, mu mulembe gwa Tekinologia akulira ku misinde.
Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa naye alambise Obuganda obuwangaalira e bunaayira ebituukiddwako mu Bwakabaka n’enteekateeka eziriwo olw’okutuusa obuweereza ku bantu ba Buganda.
Akkaatirizza ebikoleddwa mu Federo ow’ebikolwa nga n’okutuuza Abaami ba Kabaka kyekimu kubyo, okunyweza enkulaakulana y’abantu ba Kabaka n’Obwakabaka okutwaliza awamu.
Mulimu okuzimbira abantu ba Kabaka amalwaliro e Kalasa mu Bulemeezi, Nsangi mu Busiro, Busimbi Ssingo, Mukungwe Buddu ne Nyenga Kyaggwe, ssaako okubakulaakulanya okuyita mu byobulimi mu nteekateeka nga Mmwanyi terimba n’endala.
Ku malwaliro abiri agaggulwawo mu July, abantu 640 bebaakajjanjabibwamu mu bbanga ery’emyezi 2, ate e Busiro bali 120.
Owek. Rashid lukwago Ssaabagunjuzi we Kisaakaate kya Nnaabagereka asomesezza ku buntubulamu n’ensa mu kunyweza Nnamulondo nakkaatiriza nti omuntu atalina nsa afaananako omuwulenge.
Owek. Samuel Ssekajugo omwami w’essaza Rhinelands akubirizza abantu ba Kabaka e bunaayira okukozesa tekinologiya okutambuza amawulire g’Obwakabaka mu butuufu n’okujungululanga obulimba. Ageraageranyizza abasekeeterera obwakabaka ku batujju.
Owek. Ssekajugo awadde ekirowoozo nti olw’okuba abantu abajja mu Buganda baaniruzibwa era nebagandawazibwa mu bwangu, bangi beefudde mmo mu kusekeeterera Obwakabaka, asabye wateekebwewo ekiseera okusookanga okubekenneenya nga tebannaweebwa nkizo yonna mu Buganda.
Owek. Nelson Mugenyi yeebazizza nnyo Kabaka okubateerawo enteekateeka ebagatta ng’abantu be ababeera e bunaayira. Akubirizza buli muntu okubaako ne kyatoola mu luwalo okwenyigira mu kuzza Buganda ku ntikko nga tewali alekera munne.
Agambye nti balina n’enteekateeka endala era nasaba bonna baziwagire, naawa eky’okulabirako mu Ssaza Sweden ne Scandinavia kaweefube w’okusonda oluzzi banaatera okumuggusa.
Abantu ba Kabaka abeetabye mu ttabamiruka Ono basanyukidde nnyo ebituukiddwako n’ebiteekebwateekebwa era nebasuubiza okubiwagira.#