Abakulu ku ssetendekero wa Makerere, batandise ku ddimu ly’okukyusa amakulu g’obubonero bweggwanga noluyimba lweggwanga mu nnimi ezenjawulo, okusobozesa banna Uganda, okubinyonyoka nokusikiriza bannansi ku kwagala ensi yaabwe.
Munteekateeka eno etandise n’okunyonyola banna Uganda, akabonero ka Ngaali, Court of Arm, bendera yeggwanga, n’oluyimba lweggwanga, munnimi ezenjawulo.
Bino bivuunulibwa mu nnimi okuli oluganda, Oluteeso, Olurugwala, n’olunyoro – Rutooro, okusobozesa bannansi, okumanya amakulu gaabyo eri ensi yattu nokubaagaziza okubisaamu ekitiibwa ekyetaagisa.
Bwabadde ayogerera mulukungaana lwabannamawulire mu kutongoza enteekateeka eno ku ssetendekero wa Makerere, Prof Barnabus Nawangwe, amyuka ssenkulu wa University eno, agambye nti abantu bangi tebamanyi makulu gabubonero buno, ssonga obumu bunyonyolwa mu lulimi luzungu.
Prof Nawangwe era ayagala gavumenti obutabo obufulumiziddwa mu nnimi ezenjawulo kunsonga eno, buteekebwe mu masomero agenjawulo nokubuteeka Ku bisomesebwamu abayizi nabo bongere okubinyonyoka.
Dr Paddy Musana, Dr Marion Alina ne Naomi Namanya, abasomesa mu ssetendekero Makerere, era ng beebamu ku baakulembeddemu enteekateeka eno, nokunonyereza kukukyusa obunonero noluyimba lweggwanga munnimi ezenjawulo bagamba nti kino kyagendereddemu okuteekawo enkyukakyuka mu banna Uganda kungeri gyebatunuliramu ebintu ebitwalibwa nti bikulu muggwanga.
Pulojekiti eno yeemu ku buwumbi 30 gavumenti bweyateeka mu ssetendekero wa Makerere okutumbula ebyokunonyereza nokubaako obuyiiya University eno, bwetandikawo.