Bya Kato Denis
Enjovu etabuse n’etta omusajja munnansi wa Colombia Ramirez Amaya Sebastian, abadde anoonyereza ku nsolo mu kkuumiro lyazo erya Kibale National Park.
Omusajja ono omukugu mu byokunoonyereza, yava mu Arisona State University e Columbia.
Ramirez abadde ne mukwano gwe nga banoonyereza ku bisolo mu kibira,gyebagwiridde ku njovu nebagoba emisinde,okutuusa ye bwakooye nemulinnya linnya n’emutta.
Mu kiseera kino emirimu mu kifo omugenzi waabadde akolera okunoonyereza ku nsolo, ekya Ngogo Research Station giyimiriziddwa.
Police ye Fort Portal nga eyambibwako ekitongole ky’ebisolo ki Uganda Wildlife Authority omubiri gw’omugenzi bimaze okuguggyayo mu kibira gyeyafiiridde.
Bashir Hangi emwogezi w’ekitongole ky’ensolo z’omunsiko ki Uganda Wildlife Authority ategeezezza nti entiisa ey’ekika kino ebadde emaze emyaka 50 nga teddangamu kubaawo mu kibira kino.
Agamba nti bagenda kwongera
okunoonyereza okuzuulira ddala ekyaviiriddeko enjovu eno okuva mu mbeera n’etta omuntu.