Abakulembeze b’ekibiina kya Nkobazambogo ku mutendera gwa secondary ne university balayiziddwa okukuuma ebyama by’Obwakabaka n’okutumbula obuwangwa mu bavubuka ba Buganda.
Abalayiziddwa kuliko Nalujja Rachel, Nakalo Martha, Kasule Owen, Kakeeto Hanington Seremba, Benon Mutebi ne Kyewalyanga Herman.
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye bannankobazambogo okussa omwoyo ku byabatwala mu masomero, nga tebasudde buvunanyizibwa bw’ekibiina, abazadde, n’okwetegekera akadde nga batekebwa okubaako ebyabwe byebakola.
Minister w’abavubuka ebyemizanyo n’okwewummuza Henry Ssekabembe Kiberu yebazizza abakulu b’amasomero olw’okuwa obuganda omwaganya okuleeta Nkobazambogo mu masomero, n’asaba ab’ekibiina okutuukagana n’omutindo oguliwo ensangi zino.
Abategeezezza nti Obuganda bulina enteekateeka ey’okwanjula oluwalo mu masomero abayizi nabo bazimbe obwakabaka bwabwe, era nga kyakutandika mu kaseera mpa we kaaga.
Bisakiddwa: Naluyange Kellen