Kyadaaki akakiiko k’ebyokulonda mu Dp kamaze nekalangirira ebivudde mu kulonda obukulembeze bwékibiina kino oluvannyuma lw’ennaku 3 ng’akalulu kayiika.
President wa Dp Nobert Mao abaddeko azeemu okulangirirwa ng’omukulembeze wékibiina kya Dp wakati mu bawagizi okuwakanya ebirangiriddwa, nti obululu businze nábalonzi obungi.
Akalulu kabadde mu Ttabamiruka wa DP ow’omulundi ogwe 12, atudde mu kibuga Mbarara, okuva nga 30 May okutuuka nga 02 June,2025, wadde nga yabadde wakukoma nga 01 June.
Akalulu kano akatasussa bantu 1500 katutte essaawa ezisoba mu 24, ekireetedde abamu ku banna kibiina kya Dp okugamba nti obudde obwo bubadde bungi, nga balumiriza nti wabaddewo ekibba bululu.
Nobert Mao afunye obululu 969,Dr Lulume Bayiga afunye obululu 339 ate Alitia Elia afunye obululu 52.
Richard Ssebamala naye eyabadde yesimbyewo, yawanduddwa mu lw’okaano, ku bigambibwa nti yabadde talina bisaanyizo byesimbawo ku ntebe ennene eya DP.
Ssentebe wákakiiko ke byokulonda Kenedy Mutenyo obwedda asoma ebivudde mu kulonda naye nga abantu bamutegeeza nti tebategeera byayogera.
Abamu ku banna kibiina kya Dp bawakanyizza ebivudde mu kalulu kano nga bagamba nti bakawangulidde ku mudumu gwa mmundu, omuli n’okubagobera ebweru.
Wakati mu kubala akalulu kano ne banna mawulire tebakirizidwa kugoberera bibadde bigenda mu maaso era bano bakukulumidde akakiiko ke byokulonda mu DP okukozesa eryanyi okubagobera ebweru.
Wabula akalulu kano kalangiriddwa wakati mu bukuumi obw’amaanyi, era akakiiko ke byokulonda tekakkiriza bawagizi babesimbyewo kugenda mu kifo webakabalidde ne webakalangiriridde.#