Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll, alagidde abantu be, okunyiikirira okuyiiyiza byebakola, okusitula omutindo n’okukola ennyo bekulaakulanye.
Ssaabasajja Kabaka obubaka abutisse Omulangira Crispin Jjunju Kiweewa, ku mukolo ogw’okuggulawo ettabi eppya n’okutongoza olukiiko oluggya olukulembera ekitongole kya Kabaka Foundation ettabi erya Ireland ne UK.
Omutanda era alagidde abantu be okukwasaganyiza awamu okukola ebintu ebibakulaakulanya.
Omukolo guyindidde ku Royal National Hotel e London mu Bungereza.
Olukiiko olutongozeddwa lukulemberwa Omukungu Henry Mutumba.
Ssalongo Geoffrey Kibuuka, Omubaka wa Kabaka mu Ssaza lya UK and Ireland yeyanzizannyo Ssabasajja Kabaka okutandikawo ekitongole kya Kabaka Foundation kyagamba nti kiyambyennyo okutumbula embeera z’abantu n’ebintu ebirala bingi.
Ssenkulu we kitongole Kya Kabaka Foundation ettabi erya UK ne Ireland, omukungu Henry Mutumba ku lwa banne aweze okutuukiriza obuvunanyizibwa obubawereddwa Ssabasajja.
Omukungu Edward Kaggwa Ndagala, ssenkulu w’ekitongole kya Kabaka Foundation, agamba nti ekitongole kikyetaaga obuyambi obwenjawulo okwongera okukwasizaako abantu ba Kabaka abali mu bwetaavu.#
Bisakiddwa: Nakato Jaefer