Abakyala mu ekkanisa ya Uganda okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo baweereddwa amagezi okwngera okwenyigira mu bintu ebibagatta, okwekulaakulanya n’okubeera n’essuubi. mu bulamu.
Obubaka bubaweereddwa Omulabirizi w’e Lango, Rt Rev Alfred Olwa, mu bubaka bwatisse, Rev Captain Patrick Benson Ogwanga, akulira eby’okubulira enjiri mu bulabirizi obwo.
Abadde akulembeddemu okubuulira enjiri mu lukuηaana lw’abakyala ku kijjukizo ky’abajulizi e Namugongo olwatuumiddwa Uganda Martyr’s celebration 2025 Women’s Conference.
Agambye nti abakyala basaanidde okwongera okwefumiitiriza ku ntambuza y’amaka, n’okufuna enkolagana eyaawamu naabo abaliko kyebatuuseko okwekulakulanya.
Rev. Captain Patrick Benson Ogwang, era agambye nti obumu mu bakyala busobola okubawanguza ebisoomoza ssinga baba banyweredde mu kukkiriza.
President w’abakyala abafumbo mu ekkanisa ya Uganda, Grace Mulyengyezi, ne Canon Dr Ruth Ssenyonyi president eyawummula, baasabye abakyala okuba ekyokulabirako mu maka ne mu nkuza y’abaana kiyambeko mu nkulakulana n’okuzaawo emirembe mu ggwanga.
Olukuηaana lw’abakyala luno, lwerugaddewo ebikujjuko byonna ebikulembedde okujaguza emikolo gy’okulamaga e Namugongo omwaka guno, ku ludda lw’ekanisa ya Uganda e Nakiyanja.
Obulabirizi 6 okuva mu bukiika kkono bwa Uganda okuli obwe Lango, West Nile, West Lango, Nebbi, Madi, ne Northern Uganda bebateeseteese gy’omwaka guno 2025
Bisakiddwa: Ddungu Davis