Olukiiko lw’abavubuka ba Buganda olubadde lukulemberwa Ssejjengo Baker lukomekkerezza emirimu gyalwo egy’ekisanja ek’emyaka enna.
Omulangira David Kintu Wassajja yeebazizza obukelembeze bwabwe olw’okulwanirira n’okukuuma ekitiibwa kya Nnamulondo ebbanga lyonna.
Ssentebe wa Buganda Youth Council Ssejjengo Baker asomedde omulangira David Kintu Wasajja era nga ye muyima w’abavubuka mu Buganda, alipoota erimu ebituukiddwako mu kisanja kyabwe eky’emyaka ena.
Ssejjengo agambye nti baasobola okussaawo eddoboozi ery’omwanguka ku nsonga z’ettaka erya mayiro, okufuna abavubuka abesimbyewo nebawangula ebifo by’obukulembeze ku mutendera gw’eggwanga lyonna.
Olukiiko lwabwe lusobodde okutumbula eby’enjigiriza nga luyita mu kuwa abaana abateesobola sikaala mu zi ssettendekero z’Obwakabaka n’okuwa abaana ba p.7 ebintu ebibayambako mu misomo gyabwe mu masaza okuli Butambala, Buvuma, Ggomba n’amalala.
Ssejjengo era agambye nti batumbudde eby’emizannyo era nga baatandikawo okuvuganya mu by’emizannyo eby’enjawulo ku mutendera gw’eggombolola.
Yebazizza Omulangira Wasajja okubalungamya n’okubabeererawo buli webamwetaagira.
Mu ngeri eyenjawulo yeebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olwokuwa abavubuka omulembegwe.
Bisakiddwa: Ssekajiija Augustus