Okusaba ku lunaku lw’abajulizi ba Uganda e Namugongo ku ludda lw’abakatuliki e Bulooli kukulembedddwamu essaza lye Lugazi, ku mulamwa ogugamba nti “Ayi Mukama mpa okulaba nate, Nze omulamazi ow’essuubi”

Bishop Christopher Kakooza akubirizza abantu ba Katonda okunyweza okukkiriza kwabwe ng’abajulizi bwebaakola, balyoke bafune eby’amagero.
Mu ngeri eyenjawulo Bishop Kakooza yebazizza Katonda olw’ekkula Eklezia Katulika lyeyatuseeko bweyafunye Omulangira Paapa Leo XIV, ekyazizza essuubi mu bakkiriza.

Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere asabye bannabyabufuzi okubeera ab’emitima egirumirirwa abalala , n’okulowooza ku bukulembeze obukulembeza obuweereza obulungi.
Ssentebe w’olukiiko lw’abepisikoopi mu Uganda era omusumba wa Kiyinda Mityana Bishop Anthony Zziwa, alambuludde ebimu ku bituukiddwako, omuli okutongoza bayibuli ya “Good News Bible, Martyrs Edition” etereezeddwa ku musingi gw’enjigiriza ya Eklezia Katulika.
Asabye Abakristu okukigula okuva mu Bible Society of Uganda n’amatundiro g’ebitabo amalala.

Ssaabakristu wa Uganda Javez Ndyanabo asabye nti ebikolwa eby’okutyoboola eddembe ly’obuntu bikomezebwe, naddala ng’eggwanga lyolekera akalulu ka bonna aka 2026.
Omumyuka wa President Museveni, Rtd Maj.Jesca Alupo yeyetisse obubaka bwa president, akubirizza bannaddiini okuyambako government okwagazisa abantu enteekateeka z’ebyenkulaakulana, ate bewale n’okutabiikiriza eby’ebyobufuzi mu ddiini.








Bannabyabufuzi abalala bangi okuli ba minister n’ababaka ba Parliament beetabye mu Mmisa y’olunaku lw’abajulizi e Namugongo.
Abalamazi abavudde mu mawanga agenjawulo nabo babadde bangi ddala.