Ab’ebyokwerinda bayiiriddwa olwetoloola ekitundu kye Munyonyo, oluvannyuma lw’ekintu ekibwatuse ekiteeberezebwa okubeera Bbomu, nekitta abantu babiri okumpi n’eklezia ya Martyrs’ Shrine e Namugongo.
Abafudde babadde batambulira ku pikipiki, nga kubaddeko omukyala agambibwa okuba nti yabadde akukulidde ekibwatuse, saako owa bodaboda abadde amuweese.

Ssaabaduumizi wa police Abas Byakagaba naye atuuse okwekenneenya embeera.#