Akakiiko k’eggwanga akebyokulonda katandise mu butongole okuwandiisa abantu abagala okwesimbawo ku bifo by’obukulembeze bw’abakadde,abavubuka n’abaliko obulemu ( special interest groups) ku mutendera gw’ebyalo.
Enteekateeka eno etandise leero nga 02 June yakukomekerezebwa nga 10 June,2025 olwo okunoonya akalulu kubeeyo okuva nga 12 okutuusa nga 14, okulonda kubeeyo nga 16 omwezi gwe gumu ogwa June.
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Julius Mucunguzi aluηηamizza ku bukwakkulizo abagala okweesimbawo okukulembera ekikula ky’abantu mu biti ebyenjawulo.
Julius Mucunguzi alabudde abakozi n’akakiiko k’ebyokulonda abagenda okumuliramu enteekateeka eno, okugoberera obukwakkulizo buno okweewala okusunsula abantu abatasaanidde.#