Alipoota efulumiziddwa ministry y’ebyobulimi n’obulunzi eraze nti omwaka gumu oguyise, Uganda yatunda emmwanyi eziwera ensawo obukadde 7 n’emitwalo 170, bw’ogerageranya n’ensawo obukadde 5 n’emitwaalo 90 zeyatunda okuva mu April w’omwaka 2023 okutuuka mu May w’omwaka 2024.
Ensawo z’emmwanyi obukadde 7 n’emitwalo 170 Uganda zeyatunze omwaka oguyise ( May 2024 – May 2025), zaavuddemu ensimbi trillion 7 n’obuwumbi 135, ke kawumbi ka ddoola za America 1 n’obukadde 970.
Uganda eruubirirwa okuweza ensawo z’emmwanyi obukadde 20 bwetunda ku katale k’ensi yonna, omwaka 2030 wegunaatuukira
Kampuni y’Obwakakaba eya Mmwanyi Terimba limited, Kyagulanyi Coffee Limited, Ugacof, Export Trading Company ,Zigot Limited, Bugisu Cooperative Union n’endala zeezibadde ensaale mu kutunda emmwanyi ya Uganda ebweru wa Uganda e Bulaaya, Asia newalala.