Akakiiko keby`okulonda mu kibiina kya NRM katandise okuwandiisa abagala okuvuganya mu kamyufu k’ekibiina kino ku mutendera ogw’ababaka ba parliament neba Ssentebe ba district.
Ebikonge eby’amaanyi mu kibiina byebisookedde ddala okuggyayo empapula, okuli Sipiika wa Parliament Nnalongo Annet Anita Among ayagala okweddiza eky’omubaka omukyala owa Bukedea District.
Abalala kuliko omumyuka wa president Jesca Alupo ayagala okuvuganya ku ky’omubaka omukyala Owa district ye Katakwi, ate nga n`omumyuka wa wa Sipiika Thomas Tayebwa naye aggyeyo empapula okuddamu okuvuganya ku ky`omubaka wa Ruhinda North County mu district y’e Mitooma.
Omumyuka wa Sipiika Thomas Tayebwa ategezeeza nti basazeewo okuddamu okuvuganya batereeze ebizibu government yabwe byebadde tenakolako.
Chancellor wa Makerere University Dr.Crispus Kiyonga naye yewandiisizza okuvuganya ku ky’obubaka bwa Parliament okukiikirira Bukonzo West mu district ye Kasese.
Dr. Wakida Patrick Godfrey Ssenkulu wa CEO Research World International, naye agyeyo empapula okugenda mu Constituency ye Kabweri mu district ye Kibuku.
Bajungu Godfrey abadde Ssentebbe w’eggombolola ye Kibanda okumala emyaka 25, naye aggyeyo empapula okuvuganya ku kifo kya Ssentebbe wa district ye Rakai.
Ku lunaku olusookedde ddala, ba memba 781 bebaggyeyo empapula okuvuganya mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Bisakiddwa: Musisi John