Abasirikale b’eggye lya UPDF 13 bakwatiddwa Police oluvanyuma lw’okulumba police ye Wakiso nebakuba abasirikale olw’ensonga z’ettaka.
Abakwatiddwa kigambibwa nti bajjaasi okuva mu kakiiko ka State House abavunanyizibwa ku by’ettaka aka Presidential Task Force on Land Matters and Environment.
Kigambibwa nti baalumbye police ye Wakiso akawungeezi kagyo nga 02 June,2025 ku ssaawa nga 11 ezakawungeezi, baabadde mu mmotoka y’amagye eya langi eya kiragala namba UBG 0412U ne nddala ekika kya Noah Toyota No. UBR 647B.
Kigambibwa nti baagala okukola ekikwekweto ku ttaka nga baagala kufuna lukusa okuva eri aduumira police ye Wakiso wabula nebafuna obutakkaanya, ekyaddiridde kwabadde kuwanyisa bisongovu n’okukuba amasasi mu bbanga era abasirikale abamu baalumiziddwa.
Omwogezi wa police ye ggwanga Rusooke Kituuma agambye nti abajaasi oluvannyuma bsdduse nanalinnya emmotoka zabwe nebagenda, wabula police n’amagye okuva e Kampala baabazingirizza mu kitundu ekimanyiddwa nga ku Yesu-amala e Nansana nebabakwata.
Guno sigwemulundi ogusoose ng’abasirikale ba UPDF balumba police, ne gyebuvuddeko abajjasi okuva muggye erikuuma President erya SFC baalumba police ye Lubowa nebakuba abasirikale ba police omwali ne OC agitwala.#