
Omutendesi wa ttiimu yéggwanga eyómupiira ogwébigere eya Uganda Cranes, Milutin Micho Sredojevic, alangiridde ttiimu y’abazannyi 24 egenda okuzannya omupiira ogwómukwano ne ttiimu ya Buganda eyalondeddwa okuva mu masaza ga Buganda ezómwaka oguwedde.
Omupiira guno gugenda kuzanyibwa enkya ku lwókutaano nga 15 mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso, kusaawa 10 ezólweggulo munteekateeka ya Cranes Regional Tour.
Abazannyi abali ku ttiimu eno okusinga bavudde mu club za Uganda Premier League ne FUFA Big League.
Abamu ku bano ye Ivan Sserubiri owa URA, Farouk Miya atalina club mu kiseera kino, Musa Ramadhan, Ezira Kaye, Azizi Kayondo, Nafian Alionzi, Rashid Kawawa, Martin Kizza Nafian Alionzi,Dennis Otim , Jeans Wokorach n’abalala
Obwakabaka bwa Buganda nabwo bwalangiridde ttiimu yabazannyi 25 okuva mu ttiimu za masaza ezenjawulo, abagenda okuzannya omupiira guno.
Uganda Cranes bw’emalirizza okuzannya ne ttiimu y’amasaza eyawamu, egenda kuzako okuzannya ne ttiimu eyawamu eya Kampala Region Select ku lwómukaaga nga 16 ku kisaawe kya St Mbaga Major Seminary e Ggaba.