Wabaluseewo akatuubagiro wakati wa Democratic Republic of Congo ne Rwanda,entabwe evudde ku bayeekera ba M23 ekyongedde okuteeka akazito ku mukago gwa East African Community.
DRC erumiriza Rwanda omuvujjirira abayeekera ba M23 nga basinziira mu kitundu ekya North Kivu.
Mu kiseera kino DRC eweze ennyonyi za Rwanda zonna obutaddamu kugwa ku ttaka lyayo.
Amawanga gano gombi kati gannamukago ogwa East African Community.
Omukago gulimu amawanga 7 okuli Uganda ,Kenya ,Tanzania ,Rwanda ,Burundi ,south Sudan ne DR Congo eyayingira omukago guno mu omwezi gwa April 2022.
DRC erumiriza Rwanda okuvugirira abayeekera ba M23 abagitigomya,ekyaviiriddeko abajaasi n’abantu babulijjo okulugulamu obulamu, nabalala nkumi na nkumi nebasigala nga babundabunda.
Rwanda nayo olwaleero mu butongole eyimirizza ennyonyi zaayo zonna mbagirawo obutaddamu kugenda mu DR Congo mu bibuga okuli Kishansa ne Goma ,era yetondedde abantu ababadde bakozesa ennyonyi zino.
Wadde amawanga gano galumangana ,teri mukulembeze mu mawanga gannamukago yavuddeyo okubaako kyarungamya ku mbeera eno yadde okugatabaganya.
Ebyo webijidde nga Rwanda yakaddamu okulima akambugu ne Uganda, oluvannyuma lw’okufuna obutakaanya Rwanda neggala ensalo,okumala emyaka ebiri.
Rwanda yali erumiriza Uganda okubuddamya abantu beyagamba nti baseketerera government yaayo, awamu nokuggalira bannansi ba Rwanda mu buduukulu awatali kutwalibwa mu mbuga z’amateeka.
Obutakaanya buno abakulembeze bomukago gwa East Africa baazeesamba , ensonga zaalabwaako nga zitwaaliddwa eri omukulembeze wa Angola yaali mukutabaganya Uganda ne Rwanda
Embeera eno eretaawo ebibuuzo nkumo ku biseera byomumaaso ebyomukago gwa East Africa nokwegatta kwamawanga ga East Africa