Police ye Jinja ezinzeeko yafeesi zekibiina Kya NUP mu kibuga Jinja neyoola engoye zonna emyuufu, enkufiira, nebiwandiiko mukaweefube owokulemesa banakibiina okubikozesa nga bakuyega.
Mu kikwekweeto ekikulembedwamu DPc wa Jinja SP Asunila Ahamed, agambye nti babasaba dda bave ku ngoye emyuufu ezefananyiza ezabakuuma ddembe, naye nga tebafaayo.
Nti naye bangi bakyagugubye.
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Kiira region Asp Abby Ngako aganmbye nti waliyo nebanakibiina kya NUP bebakutte, nga kati bayamba ku police mukubuuliriza.