Obwakabaka bwa Buganda busabye abantu baabwo bonna okujjumbira enteekateeka ey’Okubala abantu okugenda okutandika mu kiro kya nga 10 May,2024, kiyambeko government okuteekerateekera abantu Obulungi.
Okubala abantu kukulembeddwamu ekitongole ky’ebibalo mu ggwanga ekya Uganda Bureau of Statistics, era nga kwakumala ennaku 10, nga mulimu okubala abantu, amayumba n’ebintu byabwe ebirala
Katikkiro agamba nti okubalibwa kw’abantu kwakuyamba nnyo government okumanya omuwendo gw’abantu abalina okuteekerwateekerwa, era naasaba abasajja nti babe basaale mu ntekateeka eno.
Yasinzidde ku nteekateeka eno naasaba government ebeere nnenkanya ku musolo oguva mu Kampala , Wakiso, Mukono ne Masaka, abantu baayo bafune Obuweereza obusaanidde omuli Enguudo ennungi, Amalwaliro, Amasomero n’amasannyalaze.
Katikkiro yabadde mu lukiiko lwa Buganda nagamba nti atambudde ebitundu bingi ebya Uganda gy’asanze enguudo ezinyirira Kawerette.m nti wabula wano mu kitundu kya Buganda ekisinga n’okuvaamu emisolo emingi nti yewasinga enguudo ezijjudde ebinnya n’enfuufu.
Awadde eky’okulabirako eky’oluguudo oluva e Nateete mu Kampala okudda e Nakawuka mu Wakiso olumaze ebyeya n’ebisiibo ng’abantu abalaajana olw’enfuufu eyitiridde, wabula lukyaali gannyana ganywebwa muwangaazi.
Ebyo nga biti bityo, Katikkiro asabye abavubuka okweewala okumalira ebiseera ku mitimbagano nga boogera ebitaliimu nsa, naabawa amagezi balime Emmwaanyi bategeke Obukadde bwabwe, era asabye ebitongole by’Okwerinda omuli police okuteeka omukono ogwekyuuma ku babbi b’Emmwaanyi abeyongedde mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo.
Abakiise mu lukiiko lwa Buganda omubadde abaami b’Amasaza beebazizza Obwakabaka okukola okulungamya okulungi eri government n’abantu kinoomu , naddala ku nkulaakulana y’Ebyobulimi n’Ebyenjigiriza.
Mu ngeri yeemu Katikkiro yasabye government eyimbula bannakibiina kya NUP abamaze ebbanga nga bali mu nkomyo, nga bavunaanibwa emisango gy’okwambala obukoofiira obugambibwa okuba nga bwefaanaanyiriza obw’ebyokwerinda.
Katikkiro agambye nti abantu bano basaanidde bayimbulwe nti kubanga emisango egibavunaanibwa gyabyabufuzi, era ng’abantu bamaze mu kkomera emyaka egisoba mu 3.
Bisakiddwa: Kato Denis