Olulyo olulangira lutegese okusaba okwenjawulo,nebebaza Omutonzi olwÓkukuuma Ssaabasajja Kabaka okutuuka ku mazaalibwa ge ag’emyaka 67.
Okusaba kubadde mu lutikko e Namirembe.
Okusaba kukulembeddwamu Omulabirizi wéNamirembe eyawummula Kitaffe mu Katonda Samuel Bbalagadde Ssekkadde.
Omulabirizi Ssekkadde yebazizza Katonda olw’okwolesebwa okw’enkizo kweyawa Ssaabasajja, kwakozesezza okulungamya abantube naddala mu by’obulamu, ebyobulimi nénkulaakulana eyawamu.
Omulabirizi mu ngeri yeemu asabye olulyo olulangira okusigala nga lwankizo nnyo eri ensi eno, naddala mu kukyusa embeera zábantu nga bajjukira Ssekabaka Mutesa I, eyaleeta enkyukakyuka ey’omuggundu mu Buganda ne Uganda yonna.
Nalinnya Lubuga Agness Nabaloga mu Bubakabwe naye yeebazizza Omutonzi olw’okulambika Ssaabasajja era naamuwa ekirabo kyÓbulamu, mungeri eyenjawulo neyeebaza olulyo olulangira olwokwaagala kwebalina eri Maasomoogi.
Okusabira Ssaabasajja mu lutikko e Namirembe kwetabiddwako Ssaabalangira, Ssaabaganzi,abalangira nábambejja, Namasole, abataka abakulu bÓbusolya , ba ssaava ne ba Naava.