Okukuza olunaku lw’abakozi olw’ensi yonna, mu Uganda ebikujjuko ebikulu bikwatiddwa ku kisaawe ky’ettendekero lya St Leo’s College e Mukabura, mu district ye Kabalore mu kibuga Fortportal.
President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni y’asuubirwa okubeera omugenyi omukulu.
Olunaku luno lutambulidde ku mulamwa ogugamba nti “Okulongoosa obuweereza n’embeera z’abakozi ly’ekkubo ery’okutumbula emirimu n’obuweereza bwabwe”.
Wabula wadde olunaku luno lukuziddwa era lwakuwummula, abamu ku bakulembeze b’abakozi mu ggwanga ssibamativu n’embeera mwebakolera.
President w’ekibiina ekitaba bannamawulire mu ggwanga ekya Uganda Journalists Association, (UJA), Rukundo Mathias, ye agamba nti nga Uganda ekuza olunaku luno, abakozi mu bitongole ebyamawulire nabo bangi bakyanyigirizibwa nga naabamu bagobebwa ku mirimu awatali kulungamizibwa kimala, tebalina bbaluwa zibakakasa ku mirimu, bakyasasulwa bubi, n’ensonga endala nnyingi ezibanyigiriza.
Filbert Baites Baguma, ssaabawandiisi w’ekibiina ekitaba abasomesa abamasomo ga Arts, agamba nti bbo ng’abasomesa banyiivu byansusso nti kuba government yabasosola ku bannabwe abasomesa amasomo ga science abaayongezebwa emisaala, ssonga bannabwe abamu bamaze emyezi egiwera nga tebasasulwa misaala gyabwe.
President w’ekibiina ekitaba abasawo mu ggwanga, ekya Uganda Medical Association, (UMA), Dr. Herbert Luswata, agamba nti basanyufu nti government yabongeza omusaala, bannabwe abalala bawandiisiddwa ku mirimu, nga n’enteekateeka z’okuwandiisa abalala ziri mu kkubo naye ssibamativu olwengeri abasawo abagezesebwa gyebakyakwatibwamu nga tewali tteeka linywevu mwebakolera so nga bakola nnyo.
James Tweheyo akulira abakozi mu kibiina kya NRM ekya NRM Workers League, agamba nti government erina okutuula erowooze ku njawukana eziri mu nsasula y’abakozi, ng’abamu bafuna emisaala emisava ddala ate abandi nebasasulwa bubi wadde nga bali ku ddaala lyerimu mu byenjigiriza.
Omubaka akiikirira abakozi Margaret Namubiru Rwabusaija, agambye nti bagezezzako okubaako byebakwasizaako okuyambako abakozi eddembe lyabwe obutalinnyirirwa, nti naye bakyasoomozebwa olw’abalamuzi abatono abali mu kooti y’abakozi ekiviirako emisango gyabwe okwetuuma mu kooti.
Bisakiddwa: Ddungu Davis