Ba ssenkulu b’Ebitongole by’Obwakabaka byonna basabiddwa okunyweeza Obumu n’Okuwagirangana, bayambeko mu nkulaakulana y’Obwakabaka eyannamaddala.
Bwabadde asisinkanye bassenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka ku kitebe ekikulu eky’ekitongole ky’Ebyobulambuzi mu Bwakabaka ekiri ku Butikkiro awaali ssettendekero wa UCU, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza nti buli baweereza lwebatambulira awamu ebibasoomooza ebingi bisobola okugonjoolwa mu obwangu.
Katikkiro asabye bassenkulu okulowooleza ennyo ebitongole byebakulembera era balabe nga bikulaakulana.
Mungeri yeemu abasabye baseewo enkolagana wakati wa ba ssenkulu b’ebitongole n’abakozi era ebeere nungamu, era abakozi abakola Obulungi basiimibwe kyenkanyi.
Minister w’ebyobuwangwa ,ennono, embiri n’eby’okwerinda Owek Anthony Wamala,asabye Enkiiko zonna ezitegekebwa ebitongole by’Obwakabaka zituulenga mu ddiiro lya bassenkulu b’Ebitongole ku kitebe ky’ebyobulambuzi, mu nkola y’Okuwagiragana, nga akamu ku bubonero bw’Okuzza Buganda ku ntikko.
Ssentebe wa bassenkulu b’Ebitongole by’Obwakabaka Omuk Roland Ssebuufu, agambye nti ensisinkano eno yakwongera okuvaamu ebibala bingi, ng’ebitongole bikolera wamu okutuusa emiramwa gy’Obwakabaka.
Eddiiro lya basenkulu ery’omulundi guno litudde mu ngeri eyenjawulo ey’okusiima ssentebe wabwe abaddeko Owek. Anthony Wamala, Ssaabasajja gweyasiima namuwa obwa Minister w’ebyobulambuzi,embiri,ennono n’ebyokwerinda.
Eddiiro lino lituula buli luvannyuma lwa myezi 3.
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebifaananyi: MK Musa