Abakulembeze b’abagoba ba Bodaboda mu Kampala ne Wakiso abasuka mu 300 batwaliddwa mu ttendekero ly’ebyobukulembeze e Kyankwanzi okubasomesa okwagala ensi yabwe.
Abatwalidwa e Kyankwanzi bakutendekebwa okumala wiiki namba, bwebanaakomawo ate basomese aba bodaboda bannaabwe.
Ssentebe w’abakulembeze ba Bodaboda mu Kampala Maweje Frank ategeezezza CBS nti omulimu gwabwe gubadde gujudde abantu abakyaamu, nga kyekiseera okugugogola nga basoose okusomesebwa.
Agambye nti basuubira okutendekebwa mu by’obukulembeze, okulwanyisa abamenyi b’amateeka, okwekulaakulanya n’ebirala.#