President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, akalambidde nti Uganda teriimu bbula lya mirimu, nti wabula bantu abakyagaanye okukyusa endowooza zabwe ku kyebalina okukola ekituufu.
President Museveni okwogera bino abadde yeetabye ku mikolo egy’okwefumiitiriza n’okukuza olunaku lw’abakozi gibadde mu kibuga kye Fortportal mu district ye Kabalore.
President agambye nti banna Uganda abamu tebagala kuzimba birooto byabwe bagala byekuze byokka, era anenyezza nnyo abaddukira mu mawanga amalala okukuba ekyeyo nebabonabonerayo, ng’eby’okukola biri wano ewaka bingi ddala byebasobola okufunamu ensimbi.
President Museveni mungeri yeemu era yeeweze okufaafaagana n’abantu bayise abalyake abakyalemesezza enkulakulana ya Uganda, abatunda ttenda z’obutale eri abagagga ababonyabonya abanaku n’ebirala.
Asuubizza n’okukola ku kizibu ky’emisolo abakozi, abakozesa n’abasuubuzi gyebakaabira, era naakakasa nti wakusisinkana abasuubuzi omwezi guno nga 7 May0204 babigonjoole.
Minister omubeezi avunanyizibwa ku nsonga z’abakozi n’amakolero, Esther Anyakuni ku lwa minister ow’ekikula ky’abantu Betty Amongi, agambye nti ministry ye yakitegeerako nti waliwo abakozi abakyatulugunyizibwa ku mirimu mingi naddala mu makolero, kyokka nti waliwo enkola zebabaze zebasuubira nti zakugonjoola ensonga eyo.
Ku nsonga y’abakozi abakolera ebweru w’eggwanga ku byeyo, minister Anyakun agambye nti baliko emikago gyebakoze n’amawanga amalala okukendeeza ku kitulugunya bakozi ebweru n’okubagawo amateeka amalala aganayambako ku mbeera eno.
Ku mikolo gino waliwo abakozi 58 abasiimiddwa era nebaweebwa emidaali olw’obuweereza bwabwe eri eggwanga obusukkulumye.
Abafunye emidaali kuliko Ssenkulu wa Uganda Private Sector Foundation Uganda Dr.Ruth Biyinzika Musoke, ssenkulu w’ekitongole kya Uganda Wildlife Authority Sam Mwandha, owa Uganda Tourism Board Lilly Ajarova, Tom Okello owa National Forestry Authority of Uganda,
Bisakiddwa: Ddungu Davis