Bungereza etadde envumbo ku Sipiika wa Parliament Annet Anita Among wamu n’abaali ba minister ba Karamoja Agnes Nandutu ne Mary Gorreth kitutu, balangibwa kwenyigira mu kwezza amabaati agaali agabawejjere be Kalamoja.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa amyuka minister avunaanyizibwa ku nsonga za Bungereza n’amawanga amalala Andrew Mitchel, abasatu bano ssibakuddamu kukirizibwa kulinnya kigere ku ttaka lya Bungereza.
Eby’obyobugagga byabwe okuli ne account za banka eziri mu Bungereza biteereddwako envumbo era nga sibakukkirizibwa kukolagana na muntu yenna munnansi wa Bungereza mu nsonga z’ebyenfuna.
Babalumiriza okwezibika ebintu by’abawejjere bwebegabula amabaati ga bakalamoja kko n’okuteeka ensimbi mu bintu ebyonoona ensimbi yo muwi w’omusolo.
Wabula omwogezi wa Parliament Chris Obore ayanukudde Bungereza nti erina ebintu byayo byeyenoonyeza n’okwesasuza Parliamrnt ya uganda olwokuba nga yayisa etteeka erikugira omukwano ogwe bikukujju.
Agambye nti bino byonna sibyakubayigula ttama nti era parliament teyejjusa kuyisa ttteeka erikugira omukwano ogwebikukujju.
Okusinziira ku kawaayiro 8b ak’etteeka erikwata ku kuyingira n’okufuluma kw’abantu mu ggwanga lya Bungereza ery’omwaka 1971 omuntu ateereddwako envumbi ekika kino afuukira ddala muboole bwegutuuka ku nsonga yonna eyekuusa ku ggwanga mwaba agobeddwa.
Guno gwe mulundi ogusookedde ddala Bungereza okukaliga nnatti ku bakungu ba Uganda, nga yeesigama ku mateeka génsi yonna agalwanyisa enguzi.
Amabaati agagambibwa nti ge gaazaalira abaali ba minister ebitukula, gaali gaakuweebwa abanaku abawejjere abé Karamoja okufuna ennyumba mwe basula, wabula kigambibwa nti abakulu mu government ya Uganda omuli ne ba Minister bangi baageegabanya, nga bagaggya mu store za Ofiisi ya Ssaabaminister e Nammanve.
Minister wa Bungereza omubeezi owénsonga zámawanga amalala Andrew Mitchell; agambye nti ekikoleddwa Bungereza libadde ddoboozi eri abakulu mu Government ya Uganda, okukomya okuzannyisa ebintu ebiweebwayo okujuna abanaku, bo ne babissa mu nsawo zaabwe ngábantu, bwatyo nálabula nti buli eyeetaba mu muze guno ajja kugusasulira
Mu nvumbo zino; Bungereza era ekalize nnatti ku bakungu mu Governmenr zámawanga amalala okuli Bulgaria, Lebanon, Moldova, Russia, South Africa, South Sudan, ne Venezuela, bonna bali ku nsonga yému eyókulya enguzi.
Okuva mu mwaka 2021 ensi yonna lwe yayisa envumbo ku balyi bénguzi, Bungereza yaakakaliga abantu 42 nébitongole byámawanga agénjawulo, ebyenyigidde ku kulyakula ensimbi zámawanga gabwe.
Bisakiddwa: Nabagereka Edith