Omuzigu atanategeerekeka mannya awambye amaka n’atemaatema abaana 3, baddusiddwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi.
Ettemu lino libadde mu maka g’omutuuze Ayebale Anitah mu kitundu ekimanyiddwa nga Zanta Ndejje mu Ssaabagabo Makindye.m essaawa zibadde nga 4 ezokumakya nga 29 April,2024.
Ababaddewo nga bino bigwawo bagamba nti omuzigu abadde akutte ejjambiya naayingira mu kikomera ky’amaka , asanzeemu omukyala n’abaana be 4, kwekulagira omukyala amuwe obukadde bwa shs 5.
Wabula omukyala amutegeezezza nga bwabadde tazirinaawo, wabula n’amusaba amuleke afulume agende azinoonye.
Omukyala bwafulumye kwekutegeeza abamu ku batuuze abakubidde police netuuka mu bwangu.
Wabula basanze omuzigu yesibiddemu nju n’abaana, bagenze okumenya oluggi balabye musaayi gukulukuta ng’abatemye ebijambiya.
Abaaana abatemeddwa ye Atuhaire Lucia owemyaaka 2, Ampaire Maria Zoe emyaka 5, Musiime Blair emyaka 7 ne Ankunda Godius emyaka 14.
Police egenze okumenya ekisenge omuzigu gyabadde okumunoonya balabye amenya kasolya ka nnyumba ng’ayagala kuyita mu mabaati adduke, wabula abasirikale nebamukuba ebyasi ebimuttiddewo.
Abaana baddusiddwa mu ddwaliro lya Nalujja Medical centre ku Batabata ku luguudo lwe Ntebbe, ng’embeera ssi nnungi.
Okusinziira ku amyuka omwogezi wa police mu Kampala némiriraano Luke Oweyisigire, omulambo gw’omuzigu gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Mulago, wabula ng’ebimukwatako n’ebigendererwa bye bibadde tebinamanyika.#