Buli nga 01 May, olunaku lwabakozi, ensi ezenjawulo olunaku luno luzikuza mu ngeri yanjawulo nga mwemuli abalufuula olunaku olwokuwumula, abalala abakozi bekolamu omulimu mu bibiiina bya bwe ebyabakozi nebakumba mu nguudo z’ebibuga ate abalala nebagabula ebijjulo okwekulisa ebibeera bituukiddwako, abalala bakuba tooci n’okwefumiitiriza ku biyinza okukyusa obulamu babwe.
Olunaku lw’abakozi mu nsi yonna lwatandika mu biseera amakolero wegaatutumukira ennyo mu Bulaaya, mu myaka gya 1900, era nga gaali gakozesa abakozi bangi wabula ng’embeera mwebaali bakolera yali yennyamiza n’eddembe lyabwe nga lirinnyirirwa.
Abakozi baasalawo okwekolamu omulimu okulwanirira eddembe lyabwe, era n’okusalawo ku nsonga zabwe entono zebaalinako obusobozi.
Baatandikira ku mugendo gw’okusaawo essaawa zebaali balina okukolera buli lunaku, nezebaalina okuwummulamu.
Nga 01 May, 1904 lwe lunaku olwasookera ddala abakozi mu mawanga ga Bulaaya lwebaafuluma amakolero abamu okweyiwa ku nguudo, okulwaniyira eddembe lyabwe.
Ogumu ku mugendo ogw’ebibiina by’abakozi ogwasookera ddala gwayisa nti wakiri omuntu akolerenga essaawa 8, awummule esaawa 8 era yebake esaawa 8.
Olunaku lw’abakozi bwerutyo luwa ensi yonna okwefumitiriza abakozi gyebavudde, webali olwaleero, ebikyabasomooza awamu n’ebisomoozo ebibalindiridde mu biseera ebyomumaaso.
Ezimu ku nsonga eziri ku mwanjo ezisoomooza abakozi mwemuli ensansula y’emisaala embi tezimusobozesa kutuukiriza byetaago bitandikirwako, abakozesa abatasasulirako ddala.
Abamu ku bakozi, abakozesa babwe babaliisa akakanja, tebalina bibayamba kweziyiza bulabe ku mirimu egiyinza okuvaako ebirwadde, okukola nga tebalina bbaliwa zibakakasa ku mirimu awamu n’emirimu egibateeka mu matigga.
EBITUUKIDDWAKO
Mu bimu ku bintu abakozi byebazze batuukako bukya nga batandika kulwanirira ddembe na mbeera yabwe mwemuli:
1. Okukola esaawa engereke ezakaanyizibwako ensi yonna z’essaawa 8 olunaku, era ng’omukozi okusuka essaawa ezo abeera alina okusasulwa ensimbi enyongeza.
2. Abakozi okukkirizibwa okwegattira mu bibiina by’abakozi. Ebibiina eby’abakozi bibayamba okuteeseza wamu kirindi ku nsonga ezibakosa, mu kifo kya buli omu okufutyankibwa mu kimpoowooze.
3. Ebitongole ebimu byasalawo okusaawo abantu ab’enkizo abakozi ba Human resource managers ne ba Labour officers gyebasobola okutuukira okwanjula ensonga zabwe ezibakosa
4. Amawanga agamu galina n’ababaka abalondebwa okukiikirira ensonga z’abakozi mu Parliament .
5. Amateeka agalambika engeri omukozi gyayinza okufuumulwa ku mulimu singa abeera ne nsobi gyabeera akoze. Mu mateeka gano mwemuli erirambika nti ogwa kawala tegusalwe nga ng’ogwakalenzi teguwuliddwa. Kino kitegeeza nti omukozi abeera alina okuweebwa omukisa okwewoozako.
ENSASULA Z’ABAKOZI EZENJAWULO
Edda abantu bakolera nga bitole bya mmere oba okufuna webateeka oluba. Ensasula esookera ddala mu byafaayo gwali munnyo, nti kuba sibuli muntu nti yafunanga omukisa ng’okufuna omunnyo ogwokuteeka mu mmere ate mu kigero ekituufu, so nga guyamba ku bulamu bw’omuntu awamu n’okuwoomesa emmere.
Wabula wetutukidde leero ng’ensasula z’abakozi eziwerako ziteekeddwawo mu nsi yonna, nga mwemuli:
a) Okusasulwa esaawa omuntu zabeera akoze. Amawanga agamu abakozi tebaweebwa musaala nga bwegumanyiddwa e Uganda ogwa buli mwezi, wabula omuntu abalibwa esaawa zeyewaayo okukola buli lunaku, bwatyo buli saawa nebalibwa sente ze nezimuweebwa mu kiseera kyebabeera bakaanyako gamba nga ku nkomerero ya wiiki.
b) Omusaala: Omusaala ogwabuli mwezi gwegusinga okumanyikwa wadde nga waliyo n’igwomwaka. Mu kino, omuntu akola ennaku ttaano mu wiiki buli mwezi okumalako omwaka.
c) Okugabana amagoba: Mu mawanga agamu mu ma kampuni agamu, abakozi bakaanya ne ba nanyinni makampuni nti singa kampuni eyingiza amagoba okusukka omutendera omugereke, amagoba ago agasusseemu kampuni enazigabana n’abakozi.
d) Emirimu egimu gisasulira abakozi sente ezokujanjabwa awamu n’okuweerera abaana.
Werutuukidde leero nga mu Uganda abakozi abawerako bakolera mu mbi etalambikuddwa bulungi, so nga ne government ekyalemereddwa okuyisa etteeka erirambika omusaala ogw’essalira ogusookerwako buli mukozi ogwa mimimum wage.#
Bisakiddwa: Lukyamuzi Joseph