Nnaabagereka Sylvia Nagginda atongozza ensawo ey`okusonderamu ssente ez`okuyambako mu kujanjaba n`okumanyisa abantu ebikwata ku ndwadde z’emitwe.
Ensawo eno etongolezeddwa mu Bulange Mengo etuumiddwa Nnaabagereka Fund Queen’s Ball and mental Health awareness Campaign 20204.
Yakutambulira ku mulamwa ogugamba nti ‘Tukuume etabaaza tumalewo endwadde z’emitwe’
Ebikujjuko ebikulu eby`okusonda ensimbi z’enteekateeka eno byakubaawo nga 9 May,2024 ku kijjulo ekitegekeddwa ku Serena Hotel mu Kampala.
Nnaabagereka agambye nti kumpi buli lunaku oluyitawo abantu abafuna akamogo ku bwongo beyongera, kyoka ekikwasa ennaku bangi tebafibwako mu bwangu era gyebigwera bagwiridde ddala eddalu.
Nnaabagereka era yenyamiddwa olw`omuwendo gw’abantu abeyongedde okufuna endwadde z’emitwe, kyokka abantu babwe mu kifo ky`okubabudabuda ate badduka badduke.
Yonas Tegegn Woldemariam akiikiridde ekitongole kye by`obulamu munsi Yonna ekya World Health Organization, agamba nti okusinziira ku misinde endwadde z’emitwe kwezikwatira bannaUganda, Singa tewabaawo kikolebwa eggwanga lyolekedde akabaate.
Ssenkulu wekitongole ekivunanyizibwa ku byempulizigany mu ggwanga ekya UCC, Nyombi Tembo, agamba nti basazewo okuwagira kaweefube ono, okutaakiriza ekizibu kino ekyongedde okusensera eggwanga.
Minister weby`obulamu, ebyenjigiriza ne office ya Nnaabagereka Owek Cotlida Nakate Kikomeko, agambye nti buvunanyizibwa bwa buli muntu okubudaabuda abafunye akamogo ku bwongo, wamu n`okumanyisa abatanabufuna ku ngeri y`okubwewalamu.
Ensawo eno evujiriddwa aba World Health Organization, Airtel, UCC, I & M Bank, n’abalala.#
Bisakiddwa: Musisi John