Obululu bw’empaka za masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere bukwatiddwa olwaleero era amasaza gonna 18 gasengekedwa mu bibinja bisatu.
Emyaka egiyise amasaza gonna gabadde gasengekebwa mu bibinja 4, wabula ku mulundi guno gateredwa mu bibinja bisatu, buli kibinja kitereddwamu amasaza 6.
Mu kibinja A mutereddwamu Buwekula, Butambala, Gomba, Mawokota, Kabula ne Kkooki.
Mu kibinja B mulimu banantamegwa b’empaka ezisembyeyo aba Buddu, Ssingo, Bululi, Kyadondo, Mawogola ne Buvuma.
Mu kibinja C mutereddwamu Bulemeezi, Busiro, Kyaggwe, Ssese, Bugerere ne Busujju.
Empaka z’omwaka guno zisuubirwa okutandika nga 25 omwezi ogujja ogwa June mu ssaza Buddu.
Amasaza agazze gawangula empaka zino;
2004 – Gomba
2005 – Mawokota
2006 – Kooki 2-2 Bugerere [4-2 penati]
2007 – Mawokota yakuba Gomba
2008 – Kyaddondo 2-0 Gomba
2009 – Gomba 1-1 Mawogola [5-4 penati]
2010 – tezaategekebwa
2011- Buluuli 2-1 Bulemeezi
2012 – Bulemeezi 1-0 Buweekula
2013 – Mawokota 1-0 Ssingo
2014 – Gomba 0-0 Ssingo [[4-3 penati]
2015 – Ssingo 5-0 Buddu
2016 – Buddu 1-1 Gomba [6-5 pen]
2017 – Gomba 1-0 Ssingo
2018 – Ssingo 1-1 Buddu [12-11 penati]
2019 – Busiro 0-1 Bulemeezi
2020 – Gomba 3-1 Buddu
2021 – Buwekula 0-2 Buddu