
Bya Ddungu Davis
Ministry y’eby’obulamu etaddewo akakiiko akagenda okulondoola okwemulugunya kwa banna Uganda, ku bigambibwa nti babadde bawebwa ebivudde mu kukebera omusaayi ebijigirire.
Abasinze okwemulugunya bebagenda okukebera endaga luse (DNA) z’ abaana okukakasa oba nga ddala bebabazaala,saako abakeberebwa endwadde ez’enjawulo omuli Aids, Covid 19 n’endala.
Waliwo abantu ababadde beemulugunya nti ‘Laboratories’ ezimu eziri mu ggwanga,ebiva mu musaayi gwebakebera nti tebiba bituufu.
Embeera eno, yeeralikirizza ab’ekitongole ekivunanyizibwa ku kulungamya emirimu gya Laboratories, era ng’embeera yeemu yeyoleka nnyo mu kukebera Covid 19.
Dr. Richard Mugahi omukungu mu ministry y’ebyobulamu ne Dr. Suzan Nabadda, kaminsona avunanyizibwa laboratories mu ggwanga, bagamba nti abantu abalina okwemulugunya ku nsonga zino bakutwale eri akakiiko akassiddwawo mu ministry yeebyobulamu e Wandegeya,okunonyereza kukolebwe bafune obwenkanya.
Judith Obuma, omukugu mu by’okukebera DNA, agamba nti obwavu, obukuubagano mu maka, nebirala byebimu ku biviiriddeko embeera eno ey’okugaba DNA ezebicupuli okweyogera mu ggwanga.
Obuma agambye nti waliwo byebazudde ng’abantu abamu bagulirira ebiba bivudde mu musaayi, olwo nebawebwamu ebitali bituuufu.
Obuma mu ngeri yeemu agamba nti naamalwaliro agamu olwokwagala ensimbi ezamangu, kigaviirako okukola obuvunanyizibwa bwebatalinamu bukugu, ekyobulabe eri omulimu guno.