Laddu ekubye abayizi 32 n’abasomesa basatu ku ssomero lya Kembo Nuuhu Islamic Primary school mu bizinga eby’eBuvuma.
Laddu ebakubidde mu namuttikwa w’enkuba afudembye emisana ga leero, baddusibwa mu ddwaliro e Buvuma Health Centre IV nga bali mu mbeera mbi.
Abayizi abasinze okukosebwa beebo abali mu bibiina ebya wansi.
Omu ku basomesa abakoseddwa Njaga Abdu Salam ategezezza nti kati bagenze bakuba ku matu, okuggyako omuyizi omu akyali obubi ennyo.
Ssentebe w’ekitundu kino Isire Mohamed yebazizza abatwala ebyobulamu mu bizinga bye Buvuma abakoze obutaweera okutaasa abaana banob32 n’abasomesa.