Wofiisi za Kooti ensukkulumu ziggaddwawo okumala ekiseera ekitali kigere, oluvannyuma lw’omuliro okukwata ekizimbe okuli kooti eno.
Ng’ennaku omwezi 27th April, 2022 omuliro gwakwata wofiisi za Ssaabalamuzi w’eggwanga Alfonse Owiny Dollo ezisangibwa ku kizimbe okuli kooti ensukkulumu e Kololo, era ebintu ebiwerako byayonooneka.
Omwogezi w’essiga eddamuzi Jamson Karemani agambye nti wadde ng’omuliro gwakoma mu wofiisi ya Ssaabalamazi, nti naye amazzi agaakozesebwa okuziyiza omuliro ogwo obutasaasaana, gaayonoona engalama z’ekizimbe,entebe,ebitabo n’ebintu ebirala eby’abalamuzi abalala.
Kalemani anyonyodde nti kati n’enkuba etonnya ennaku zino eyingira butereevu mu wofiisi z’abalamuzi, Ssaabalamuzi nasalawo ekizimbe kyonna kigire nga kiggaddwa.
Agambye nti mu kiseera kino bakyekennenya ebintu ebyayonoonebwa n’ebirina okutereezebwa,olwo emirimu giryoke giddemu okutambula ku kooti eno.
Abalamuzi ba kooti eno ensukkulumu bagenda kugira bakolera ewaka wabwe okumala ebbanga eritali ggere.
Kalemani agambye nti wagenda kusigalawo omulamuzi omu agenda okugira ng’akozesa ku wofiisi za kooti enkulu, okusobozesa emirimu gya kooti ensukkulumu okusigala nga gitambula.
Akinogaanyizza nti Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Ddolo wakutegeeza abalamuzi, ekiseera ekituufu webanaddiramu okukozesa wofiisi ezo, nga bafunye ne satifikeeti eraga obutebenkevu bw’ekizimbe , okusobozesa abantu okukikoleramu.
Wabula ekifo ewawandiisibwa emisango n’ensonga endala kyo kiggule, era emirimu gya kooti emirala gitambula kinawadda.
Bisakiddwa: Betty Zziwa