FDC ne NUP bambalidde akakiiko k’ebyokulonda

Forum for Democratic Change-FDC

Ekibiina ky’ebyobufuzi ekya FDC kigugumbudde akakiiko k’ebyokulonda obutakola kimala ku kusomesa abantu engeri akalulu ka 2021 gyekagenda okukwatibwamu.Bano bagamba nti ennaku zongera kuggwayo kyokka abantu tebamanyi kalulu kano ngeri gyekagenda okukwatibwamu. Abakulu mu kibiina ki Forum for Democratic Change ne National Unity Platform bagamba nti ab’akakiiko k’ebyokulonda ak’eggwanga tebannakola mulimu mulungi okusomesa Bannayuganda ebikwata ku kulonda. Balowooza nti abantu obutasomesebwa bikwata ku kulonda kijja kukosa nnyo kaweefube waabwe mu kalulu ka bonna ak’omwaka ogujja.

Facebook Comments Box

Be the first to comment

Leave a Reply