Omusumba w’essaza lya klezia eeya Kasana Luweero Lawrence Mukasa yennyamidde olw’okusiwuuka empisa okuli mu baana ensangi zino nebatuuka n’okudda ku bakadde babwe nebabakuba okutuusa okubatta olw’omululu gwebyo bakadde babwe byebekoleredde.
Omusumba Mukasa asinzidde ku kigo ky’eKatikamu ku Kelezia ya St. Joseph esangibwa e Katikamu mu Town Kanso ye Wobulenzi mu district ye Luwero mu kusaba kw’okujjaguza emyaka 61 bukya kigo kino kitandikawo.
Ku mikolo.gino era kubaddeko okuwa abaana 326 esacramentu lya kofirimansiyo
, nga basiddwako emikono ng’akabonero akalaga nti bayingidde mu kisibo ky’Omukama ate emiggogo gy’abagole 2 bewangulidde obufumbo obutukuvu.
Omusaserodooti akulira e Kigo Kino Archiles Kiwanuka asiimye Ssabassajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II n’abaami be olw’okubiriza abantu b’eBulemeezi okukola, wabula ono yekokkodde ekibba ttaka ekifuuse baana baliwo ekitataliza wadde eKeleziya.
Mu bubaka bwattise omuwaniika w’essaza ly’eBulumeezi James Kyeyune, omwami wa Ssabassajja amulamulirako essaza lino, Kangaawo Ronald Mulondo asabye abazadde okunyikiza omulanga gwa Nabageraka Sylvia Nagginda ogwe’okuyigiriza abaana obuntu bulamu okwewala emize nga gino.
Minisiter omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye akiikiriddwa ssentebe w’ekibiina kya NRM e Luweero Ronald Ndawula, akubiriza abatuuze b’eLuwero okukolagana obulungi n’ebitongole ebyokwerinda mu kawefube w’okulwanyisa ekitta bantu n’obutabanguko mu maka.
Bisakiddwa: Ttaaka Conslata